Genesis 49:29-32

Okufa kwa Yakobo

29 aOluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 bmu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 cAwo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

Copyright information for LugEEEE